Isaiah 29

Zikusanze Ekibuga kya Dawudi

1 aZikusanze ggwe Alyeri
Alyeri lye linnya eryaweebwa Yerusaalemi.
,
Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu,
yongera omwaka ku mwaka,
n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso.
2 cWabula ndizingiza Alyeri,
alikuba ebiwoobe era alikungubaga,
era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri.
3 dNdikuba olusiisira okukwetooloola wonna,
era ndikwetoolooza eminaala,
ne nkusaako ebifunvu.
4 eOlikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka,
n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu.
Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka,
n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.

5 fNaye abalabe bo abangi
baliba ng’enfuufu eweweddwa,
n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi
bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka.
6 gAmangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira
mu kubwatuuka ne mu musisi,
ne mu ddoboozi ery’omwanguka,
ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.
7 hAwo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba,
birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza;
kiriba ng’ekirooto,
ng’okwolesebwa mu kiro
8 ing’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya
naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala;
oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa
naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta.
Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna
agalwana n’Olusozi Sayuuni.

9 jMuwuniikirire era mwewuunye
Muzibirire era muzibe amaaso;
Batamiire, naye si na nvinnyo,
batagala, naye si lwa mwenge.
10 k Mukama akuwadde otulo tungi,
azibye amaaso gammwe bannabbi,
era abisse emitwe gyammwe abalabi.
11 lOkwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” 12Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”

13 mMukama agamba nti,

“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,
ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,
naye ng’emitima gyabwe gindi wala.
Okunsinza kwe bansinza,
biragiro abantu bye baayigiriza.
14 nNoolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano.
Amagezi g’abagezi galizikirira,
n’okutegeera kw’abategeevu
kuliggwaawo.”
15 oZibasanze abo abakola kyonna kye basobola
okukweka Mukama enteekateeka zaabwe,
abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti,
“Ani atulaba? Ani alimanya?”
16 pMufuula ebintu
ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba.
Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti,
“Teyankola”?
Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti,
“Talina ky’amanyi”?

17 qMu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu,
n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?
18 rMu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo,
n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.
19 sAbawombeefu balisanyukira mu Mukama nate,
n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.
20 tWeewaawo asinga obubi aliggwaawo,
n’omunyoomi alibula,
n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,
21 uabo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya,
abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba,
ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.
22 vNoolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti,

Yakobo taliddayo kuswazibwa,
n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.
23 wBwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,
balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.
Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo
era baliyimirira
ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.
24 xAbo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera,
n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.
Copyright information for LugEEEE